Jeremiah 33:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kubanga Omukama kino ky'agamba: ‘Dawudi talibulwa muntu atuula ku nnamulondo ya nnyumba ya Yisirayeli;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Dawudi talirema kubeera na muntu kutuula ku ntebe ey’obwakabaka bw’ennyumba ya Isirayiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Dawudi taabulwenga musajja wa kutuula ku nnamulondo ey'ennyumba ya Isiraeri emirembe gyonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama, nsuubiza nti bulijjo wanaabangawo muzzukulu wa Dawudi anaabanga kabaka wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Dawudi taabulwenga musajja wa kutuula ku ntebe ey'ennyumba ya Isiraeri emirembe gyonna;