Jeremiah 33:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era mu bakabona Abaleevi temulibula musajja ayimirira mu maaso gange kuweereza bitambiro ebyokye, okwokya ebitone eby'obuwunga n'okuweereza ebitambiro bulijjo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
wadde bakabona, n’Abaleevi, okulemwa okubeera n’omusajja ow’okuyimirira mu maaso gange ebbanga lyonna okuwaayo ssaddaaka ezokebwa, okwokya ekiweebwayo eky’empeke era n’okuwaayo ssaddaaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
so ne bakabona, Abaleevi, tebaabulwenga musajja mu maaso gange ow'okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'okwokya ebitone n'okusalanga ssaddaaka emirembe gyonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bulijjo wanaabangawo bakabona ab'omu kika kya Leevi abanampeerezanga okuwaayo ebirabo ebyokebwa, n'ebirabo eby'emmere ey'empeke era n'ebitambiro.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so ne bakabona, Abaleevi, tebaabulwenga musajja mu maaso gange ow'okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'okwokya ebitone n'okusalanga ssaddaaka olutata.