Jeremiah 33:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama kino ky'agamba, Omukama eyakola ensi, eyagitetenkanya n'agissaawo, Omukama lye linnya lye, nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama, oyo eyakola ensi, Mukama eyagikola era n’agiteekawo, Mukama lye linnya lye:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama eyatonda ensi, Mukama eyagibumba, n'aginyweza, Mukama lye linnya lye nti;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama eyatonda ensi n'agibumba, n'agitereeza mu kifo kyayo erinnya lye nga ye Mukama, yaŋŋamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama akikola, Mukama akibumba okukinyweza Mukama lye linnya lye; nti