Jeremiah 33:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama kino ky'agamba: ‘Oba osobola okumenya endagaano yange gye nalagaana n'olunaku, n'endagaano gye nalagaana n'ekiro, emisana n'ekiro ne bitatuukira mu budde bwabwo bukakafu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bw’oba osobola okumenya endagaano yange n’emisana era n’endagaano yange n’ekiro, ne kiba nti emisana n’ekiro tebijja mu biseera byabyo ebyateekebwawo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Oba nga muyinza okumenya endagaano yange ey'emisana, n'endagaano yange ey'ekiro, waleme okubaawo emisana n'ekiro mu ntuuko zaabyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nakola endagaano eteyinza kumenyebwa nti obudde obw'emisana, n'obudde obw'ekiro bunaabeerangawo mu biseera byabwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Oba nga muyinza okumenya endagaano yange ey'emisana n'endagaano yange ey'ekiro, waleme okubaawo emisana n'ekiro mu ntuuko zaabyo;