Jeremiah 33:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwo endagaano yange ne Dawudi omuweereza wange eriyinza okumenyebwa ne wataba mwana addamu kutuula ku nnamulondo ye; kye kimu n'endagaano ne bakabona Abaleevi, abaweereza bange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
olwo endagaano yange ne Dawudi omuddu wange, n’endagaano yange n’Abaleevi, ne bakabona, n’abaweereza bange eyinza okumenyebwa, Dawudi aleme kuddayo kuba na muntu wa mu nju ye okufuga ku ntebe ye ey’obwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era bwetyo ne ndagaano yange n'omuddu wange Dawudi eyinza okumenyebwa, aleme okuba n'omwana okufugira ku nnamulondo ye, n'eri Abaleevi, bakabona, abaweereza bange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ntyo era bwe nkoze endagaano nti omuweereza wange Dawudi, bulijjo anaabanga ne muzzukulu we afugira ku ntebe ye ey'obwakabaka. Era bwe ntyo bwe nkoze endagaano nti bakabona ab'omu kika kya Leevi banampeerezanga bulijjo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale n’endagaano eyinzika okumenyeka eri Dawudi omuddu wange, aleme okuba n'omwana okufugira ku ntebe ye; n'eri Abaleevi, bakabona, abaweereza bange.