Jeremiah 33:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'emmunyeenye ez'eggulu bwe zitasoboka kubalika, n'omusenyu gw'ennyanja bwe gutayinza kupimika, bwe ntyo bwe ndyaza ezzadde lya Dawudi omuweereza wange n'Abaleevi abaweereza bange.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndifuula ab’enju ya Dawudi omuddu wange n’Abaleevi abaweereza mu maaso gange okwala ng’emmunyeenye ez’oku ggulu ezitabalika era abatabalika ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja ogutapimika.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'emmunyeenye ez'oku ggulu bwe zitayinzika kubalibwa, era ng'omusenyu ogw'ennyanja bwe gutayinza kupimika, bwe ntyo bwe ndyaza ezzadde lya Dawudi omuddu wange n'Abaleevi abampeereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'emmunyeenye ez'oku ggulu bwe zitayinza kubalika, era ng'omusenyu gw'oku lubalama lw'ennyanja bwe gutayinza kupimika, bwe ntyo bwe ndyaza ezzadde lya Dawudi omuweereza wange, ne bakabona ab'omu Kika kya Leevi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'eggye ery'omu ggulu bwe litayinzika kubalibwa, so n'omusenyu ogw'ennyanja okugerebwa; bwe ntyo bwe ndyaza ezzadde lya Dawudi omuddu wange n'Abaleevi abampeereza.