Jeremiah 33:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Tolabye bantu bano kye bagamba nti: ‘Ennyumba zombi Omukama ze yali alonze azisudde’? Bwe batyo bagaya abantu bange, tebakyabamanyi ng'eggwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tonategeera nti abantu bano bagamba nti, “ Mukama agaanye obwakabaka obubiri bwe yalonda? Kale banyooma abantu bange era tebakyababala ng’eggwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Weetegereza abantu bano bye boogedde nti, Enda zombi Mukama ze yalonda azisudde? Bwe batyo bwe banyooma abantu bange, nga tebekyababala nga eggwanga mu maaso gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Yeremiya, tonnaba kuwulira bantu bwe bagamba nti nsudde Yisirayeli ne Buyudaaya, amaka gombi ge nalonda? Bwe batyo bwe banyoomoola abantu bange, nga tebakyababala nga ggwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tolowooza abantu bano bye boogedde! nti Enda zombi Mukama ze yalonda azisudde? bwe batyo bwe banyooma abantu bange baleme okuba nate eggwanga mu maaso gaabwe.