Jeremiah 33:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: ‘Obanga mazima saakola ndagaano na misana na kiro, nga n'olubaale n'ensi sibiwanga mateeka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe mba nga sassaawo ndagaano yange n’emisana n’ekiro n’amateeka ag’enkalakkalira ag’eggulu n’ensi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Bwemba nga sanyweza ndagaano yange ey'emisana n'ekiro, oba nga ssa ssaawo biragiro by'eggulu n'ensi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye endagaano gye nakola nti obudde obw'emisana n'obudde obw'ekiro bunaabangawo mu biseera byabwo, bw'erimenyebwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Endagaano yange ey'emisana n'ekiro oba nga tenywera, oba nga sassaawo biragiro by'eggulu n'ensi;