Jeremiah 33:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwo kale ndisuula abantu ba Yakobo n'aba Dawudi omuweereza wange, era sirironda n'omu ku bazzukulu be kufuga zzadde lya Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo. Kubanga ndikomyawo abasibe baabwe era ndibagirira ekisa.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
olwo nzija kwegaana ezzadde lya Yakobo ne Dawudi omuddu wange era sirironda n’omu ku batabani be okufuga ezzadde lya Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo. Kubanga ndizzaawo nate emikisa gyabwe, era ne mbakwatirwa ekisa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale olwo nange ndisuula ezzadde lya Yakobo n'erya Dawudi omuddu wange, ne sironda omu ku be zzadde lye okufuganga ezzadde lya Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo. Ddala ndizaawo emikisa gyabwe, era ndibasaasira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kale olwo nange ndisuula ezzadde lya Yakobo n'erya Dawudi omuweereza wange, ne sironda omu ku bazzukulu be kufuganga bazzukulu ba Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo. Ddala ndikwatirwa ekisa abantu bange, ne baddamu okuba obulungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale ndisuula n'ezzadde lya Yakobo n'erya Dawudi omuddu wange, nneme okutwala ku zzadde lye okufuganga ezzadde lya Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo: kubanga ndikomyawo obusibe bwabwe, era ndibasaasira.