Jeremiah 33:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba ku nnyumba ez'omu kibuga kino, ne ku mbiri za kabaka wa Yuda ezaamenyebwa olw'okwetaasa embibiro z'okuzingiza n'ekitala
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ku mayumba agali mu kibuga kino era ne ku mbiri z’obwakabaka bwa Yuda ebyamenyebwamenyebwa okukozesebwa ng’entuumo eziziyiza obulumbaganyi n’ekitala
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, nti, ennyumba ez'omu kibuga kino, n'ennyumba za bassekabaka ba Yuda, ziryabizibwa ne zifuuka olw'okuzingizibwa n'okulumbibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama Katonda wa Yisirayeli, ŋŋamba nti amayumba g'omu Yerusaalemu, n'olubiri lwa bakabaka ba Buyudaaya, bya kumenyebwa. Ekyo kye kinaava mu ntuumu ezibeetooloozeddwa, era ne mu kulumbibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri eby'ennyumba ez'omu kibuga kino n'eby'ennyumba za bassekabaka ba Yuda ezaabizibwa okulwana ne nkomera n'ekitala, nti