Jeremiah 33:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mu kulwanyisa Abakaludeya, nti: ‘Zinajjula emirambo gy'abantu be natta mu busungu bwange ne mu buswandi. Nzija kuggya amaaso gange ku kibuga kino, olw'obugwenyufu bwabwe bwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mu lutalo n’Abakaludaaya. ‘Birijjula emirambo gy’abasajja be nditta olw’obusungu bwange n’ekiruyi. Ndikweka amaaso gange okuva ku kibuga kino olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakaludaaya bajja okulwana era n'okubajjuza emirambo gy'abantu be nzise n'obusungu bwange n'ekiruyi kyange, kubanga ekibuga kino nkikwese amaaso gange, olw'obubi bwabwe bwonna bwe bakoze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okulwanyisa Abakaludaaya, kijja kuba kujjuza bujjuza kibuga mirambo gya bantu, be ŋŋenda okutta mu busungu bwange n'ekiruyi. Ekibuga kino nkikubye amabega, olw'ebibi byonna abantu baamu bye bakoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bajja okulwana n'Abakaludaaya, naye kuzijjuza bujjuza mirambo gya bantu be nzise n'obusungu bwange n'ekiruyi kyange, obubi bwabwe bwonna bwe bunkisizisizza amaaso gange ekibuga kino: