Jeremiah 33:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nzija kukiwonya nkissuuse. Nzija kubawonya, mbooleke eddembe n'obutebenkevu eby'ekitalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Naye ndikiwa obulamu n’okuwonyezebwa; ndiwonya abantu bange, mbaleetere okweyagalira mu mirembe emigazi era eminywevu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ndikireetera obulamu n'okuwonyezebwa, nange ndibawonya; era ndibabikkulira obungi bwenkulakulana ne mirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ndizzaamu ekibuga kino obulamu ne nkiwonya. Abaamu ndibalaga emirembe emingi ne baba bulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndikireetera obulamu n'okuwonyezebwa, nange ndibawonya; era ndibabikkulira emirembe n'amazima bingi nnyo nnyini.