Jeremiah 33:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibatukuza ne baggwaako ebibi byabwe byonna bye baayonoonamu gye ndi; ndibaddiramu ebibi byabwe byonna eby'okunjeemera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibalongoosa okubaggyako ebibi byonna bye bannyonoona era mbasonyiwe n’ekibi eky’okunjeemera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibanaazaako obutali butuukirivu bwabwe bwonna bwe bannyonoona; era ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe bwonna bwe bannyonoona era bwe bansobya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ndibanaazaako ebibi byabwe byonna bye baakola mu maaso gange, era ndibasonyiwa ensobi zaabwe n'obujeemu bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibanaazaako obutali butuukirivu bwabwe bwonna bwe bannyonoona; era ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe bwonna bwe bannyonoona era bwe bansobya.