Jeremiah 33:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo ekibuga kino kirimpeesa erinnya, ne kindeetera essanyu, ettendo n'ekitiibwa mu maaso g'amawanga gonna ag'ensi agaliba gawulidde ebirungi byonna bye nkikolera. Balitya ne bakankana olw'ebirungi enkumu n'eddembe bye ndikikolera.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo ekibuga kino kirindetera okwongera okumanyika, n’essanyu, n’ettendo era n’ekitiibwa eri amawanga gonna ku nsi agaliwulira ebintu byonna ebirungi bye mbakolera; era balyewuunya bakankane olw’okukulaakulana n’emirembe gye nkiwa.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekibuga kino kiriba gye ndi erinnya ery'essanyu, n'ettendo, n'ekitiibwa, mu maaso g'amawanga gonna ag'oku nsi agaliwulira obulungi bwonna bwe mbakola, ne batya ne bakankana olw'obulungi bwonna n'okukulakulana kwe ndibawa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibuga kino kirinsanyusa ne kimpeesa ekitiibwa n'ettendo. Ab'omu mawanga gonna agali ku nsi, balitya ne bakankana bwe baliwulira ebirungi byonna bye nkolera ab'omu Yerusaalemu, n'emirembe gyonna gye mbawa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekibuga kino kiriba gye ndi erinnya ery'essanyu, n'ettendo n'ekitiibwa, mu maaso g'amawanga gonna ag'oku nsi agaliwulira obulungi bwonna bwe mbakola, ne batya ne bakankana olw'obulungi bwonna n'olw'emirembe gyonna bye nkifunira.