Jeremiah 34:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bbanga Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni, eggye lye lyonna, bakabaka bonna ab'oku nsi be yali afuga n'abantu bonna we baali balumbidde Yeruzaalemu n'ebibuga byonna ebikyetoolodde, ekigambo kino kyava ew'Omukama ne kijjira Yeremiya nga kigamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’amaggye ge gonna, n’abantu bonna ab’ensi ze yali afuga bwe baali balwanyisa Yerusaalemi n’ebibuga ebikyetoolodde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nga kigamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, nga Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'eggye lye lyonna, n'ensi zonna eza bakabaka ez'oku nsi zaatwala, n'abantu bonna abaali balwanyisa Yerusaalemi n'ebibuga byonna ebikiriraanye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yayogera nange, Kabaka Nebukadunezzari ow'e Babilooni n'eggye lye, awamu n'amagye gonna agaava mu nsi zonna, ne mu mawanga gonna Nebukadunezzari g'afuga bwe baalumba Yerusaalemu n'ebibuga ebikiriraanye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n'eggye lye lyonna n'ensi zonna eza bakabaka ez'oku nsi zaatwala n'amawanga gonna bwe baalwana ne Yerusaalemi n'ebibuga byakyo byonna, nga kyogera nti