Jeremiah 34:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu bonna n'abantu bonna abaali bakoze endagaano ne bateesa okuta abaddu baabwe n'abazaana n'obutaddayo kubakozesa nga baddu; bakkiriza ne babata.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakungu bonna n’abantu abaayingira mu ndagaano eno bakkiriziganya nti baali bakusumulula abaddu baabwe abasajja n’abakazi baleme kubakuumira mu buddu nate. Era ne babasumulula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakungu bonna n'abantu bonna ne bagonda, abaali balagaanye endagaano buli muntu okuta omuddu we na buli muntu okuta omuzaana we okuba ow'eddembe, baleme kufuulibwa abaddu nate; ne bagonda ne babata,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu bonna n'abakungu baabwe nga bakkaanyizza okuta abaddu baabwe n'abazaana baabwe, obutaddayo kubafuga buddu, ne babata.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo abakungu bonna n'abantu bonna ne bagonda, abaali balagaanye endagaano buli muntu okuta omuddu we na buli muntu okuta omuzaana we okuba ow'eddembe, baleme kufuulibwa abaddu nate; ne bagonda ne babata: