Jeremiah 34:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba nti: Bajjajjammwe, bwe nabaggya mu nsi y'e Misiri gye baali mu buddu, nakola nabo endagaano, ne ŋŋamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Nakola endagaano ne bajjajjammwe bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri, mu nsi ey’obuddu. Nagamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, Nalagaana endagaano ne bajjajjammwe ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri mu nnyumba ey'obuddu, nga njogera nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nakola ne bajjajjammwe endagaano, bwe nabaggya mu nsi y'e Misiri, gye baali mu buddu. Ne mbagamba nti
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Nalagaana endagaano ne bajjajjammwe ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri mu nnyumba ey'obuddu, nga njogera nti