Jeremiah 34:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Omwaka ogwomusanvu nga guweddeko, buli omu mu mmwe anaatanga muganda we Omwebureeyi eyakweguza. Ng'amaze okumuweereza emyaka mukaaga, anaamutanga n'agenda.’ Naye bajjajjammwe tebampulira, era tebanfaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Buli mwaka ogw’omusanvu buli omu ku mmwe ateekwa okuta Mwebbulaniya munne eyeetunda gy’ali. Bwakuweererezanga emyaka omukaaga, oteekwa okumuta agende.’ Naye bakitammwe tebampuliriza wadde okunfaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
‘Emyaka musanvu bwe giggwangako, mutanga buli muntu muganda we Omwebbulaniya gwe baakuguza era eyakuweerereza emyaka mukaaga, omutanga okuba ow'eddembe okuva w'oli;’ naye bajjajjammwe ne batampulira, so tebaatega kutu kwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
buli myaka musanvu, banaatanga buli muddu Omwebureeyi anaabanga abaweerezza emyaka mukaaga, n'aba wa ddembe. Naye bajjajjammwe ne batampulira, era ne batassaayo mwoyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emyaka musanvu bwe giggwangako, mutanga buli muntu muganda we Omwebbulaniya gwe baakuguza era eyakuweerereza emyaka mukaaga, omutanga okuba ow'eddembe okuva w'oli: naye bajjajjammwe ne batampulira, so tebaatega kutu kwabwe.