Jeremiah 34:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku zino mwenenya ne mukola ekituufu mu maaso gange bwe mwalangirira okuta baganda bammwe, ne mukola n'endagaano mu maaso gange, mu nnyumba okuli erinnya lyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emabegako mmwe mwennyini mwenenya ne mukola ekisaanidde mu maaso gange. Buli omu ku mmwe yalangirira eddembe eri abantu b’ensi ye, era ne mukola n’endagaano mu nnyumba yange eyitibwa Erinnya lyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe kaakano mwali mukyuse era nga mukoze ekiri mu maaso gange ekirungi, nga mulangirira eddembe buli muntu eri munne; era mwali mulagaanidde endagaano mu maaso gange mu nnyumba etuumiddwa erinnya lyange;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nammwe ennaku ntono eziyise, mwali mukyuse, ne mukola ekinsanyusa, buli omu ku mmwe bwe yalangirira nga bw'atadde ab'eggwanga lye okuba ab'eddembe, era ne mukola endagaano mu maaso gange mu Ssinzizo lyange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nammwe kaakano mwali mukyuse era nga mukoze ekiri mu maaso gange ekirungi, nga mulangirira eddembe buli muntu eri munne; era mwali mulagaanidde endagaano mu maaso gange mu nnyumba etuumiddwa erinnya lyange: