Jeremiah 34:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ate kati mwekyusizza ne mwonoona erinnya lyange buli omu bw'azzizza omuddu we oba omuzaana we be mwali mutadde bagende gye baagala; mubawalirizza okubeera abaddu bammwe n'abazaana bammwe nate.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano mwekyusizza ne mwonoona erinnya lyange; buli omu ku mmwe yeddiza abaddu abasajja n’abakazi be mwali mutadde bagende gye baali beeyagalidde. Mubawalirizza babeere abaddu bammwe nate.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye ne mukyuka ne muvumisa erinnya lyange, ne mukomyawo buli muntu omuddu we na buli muntu omuzaana we, be mwali mutadde okuba ab'eddembe nga bwe baagala; ne mubafuga okuba gye muli abaddu n'abazaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ate ne mukyusa ebirowoozo byammwe, ne munvumaganya. Buli omu mu mmwe n'akomyawo abaddu n'abazaana, be yali atadde okugenda nga ba ddembe nga bwe baagala, ne mubawaliriza okuddamu okufugibwa obuddu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne mukyuka ne muvumisa erinnya lyange, ne mukomyawo buli muntu omuddu we na buli muntu omuzaana we, be mwali mutadde okuba ab'eddembe nga bwe baagala; ne mubafuga okuba gye muli abaddu n'abazaana.