Jeremiah 34:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“N'olw'ekyo Omukama kino ky'agamba: Mwagaana okumpulira, mwagaana okuta bannansi bannammwe. Kale nze mbalangiriridde okuteebwa, okuteebwa okw'okufa ekitala, kawumpuli n'enjala; nzija kubafuula ekyesisiwaza eri buli bwakabaka obw'oku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temuŋŋondedde; temutadde bantu ba nsi yammwe. Kale kaakano nangirira ‘eddembe’ gye muli, bw’ayogera Mukama, ‘eddembe’, okuttibwa n’ekitala, ne kawumpuli n’enjala. Ndibafuula ekyenyinyalwa eri obwakabaka bwonna obw’oku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyava ayogera bw'ati nti Temumpulidde okulangirira eddembe buli muntu eri muganda we na buli muntu eri munne; laba, nze nnangirira ku mmwe eddembe, eri ekitala, n'eri kawumpuli, n'eri enjala; era ndibawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu nsi zonna eza bakabaka ez'oku ttaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama ŋŋamba nti munjeemedde, ne mutawa bantu ba ggwanga lyammwe ddembe lyabwe. Kale kaakano Nze nja kubawa mmwe eddembe: eddembe okukwatirwa mu lutalo, oba okufa endwadde, oba okufa enjala. Ndyesisiwaza ab'amawanga gonna olw'ebyo bye ŋŋenda okubakolako mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyava ayogera bw'ati nti Temumpulidde okulangira eddembe buli muntu eri muganda we na buli muntu eri munne: laba, nze mbalangira mmwe eddembe, bw'ayogera Mukama, eri ekitala n'eri kawumpuli n'eri enjala; era ndibawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu nsi zonna eza bakabaka ez'oku ttaka.