Jeremiah 34:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja abo abaamenye endagaano yange, ne batakuuma bigambo bya ndagaano gye bakkaanyaako mu maaso gange, ndibafuula ng'akayana ke balyebulamu ne bayita wakati w'ebiwayi byako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja abamenye endagaano yange ne batatuukiriza bweyamo buli mu ndagaano gye baakola mu maaso gange, nzija kubakolako ng’ennyana gye basalamu ebitundu ebibiri ne bayita wakati w’ebitundu byayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndiwaayo abasajja abaasobya endagaano yange abatakoze bigambo bya ndagaano gye baalagaanira mu maaso gange, bwe baasala mu nnyana ebitundu ebibiri ne bayita wakati w'ebitundu byayo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakungu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu, n'abaweereza b'omu lubiri, n'abantu bonna, abaakola nange endagaano, nga bayita wakati w'ebitundu by'ennyana gye baasalamu ebitundu ebibiri, naye ne batatuukiriza ndagaano eyo, nange ndibasalamu nga bwe baasalamu ennyana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndiwaayo abasajja abaasobya endagaano yange abatakoze bigambo bya ndagaano gye baalagaanira mu maaso gange, bwe baasala mu nnyana ebitundu ebibiri ne bayita wakati w'ebitundu byayo;