Jeremiah 34:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: Genda ewa Zedekiya kabaka wa Yuda, omugambe nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Ekibuga kino nzija kukiwaayo mu mikono gya kabaka w'e Babiloni, akyokye omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Genda eri Zeddekiya kabaka wa Yuda omugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera nti, Nnaatera okuwaayo ekibuga kino eri kabaka w’e Babulooni, era agenda kukyokya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, Genda ogambe Zeddekiya kabaka wa Yuda omubuulire nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, era alikyokya omuliro,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda wa Yisirayeli yandagira okugenda ŋŋambe Kabaka Zeddeekiya owa Buyudaaya nti: “Nze Mukama, ndiwaayo ekibuga kino mu mikono gya kabaka wa Babilooni, era alikyokya omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Genda ogambe Zeddekiya kabaka wa Yuda omubuulire nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndigabula ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Babulooni, era alikyokya omuliro: