Jeremiah 34:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nzija kubawaayo mu mikono gy'abalabe baabwe, ne mu gy'abo abanoonya obulamu bwabwe. Emirambo gyabwe girifuuka mmere ya binyonyi eby'omu bbanga n'ebisolo eby'oku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ndibawaayo eri abalabe baabwe abanoonya obulamu bwabwe. Emirambo gyabwe gya kufuuka mmere eri ebinyonyi eby’omu bbanga era n’eri ensolo ez’omu nsiko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okuwaayo ndibawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe, n'emirambo gyabwe giriba mmere eri ennyonyi ez'omu ggulu n'eri ensolo ez'omu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibawaayo mu mikono gy'abalabe baabwe abaagala okubatta, era emirambo gyabwe giririibwa ebinyonyi n'ebisolo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okuwaayo ndibawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe: n'emirambo gyabwe giriba nmere eri ennyonyi ez'omu ggulu n’eri ensolo ez'omu nsi.