Jeremiah 34:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Zedekiya kabaka wa Yuda n'abakungu be nabo ndibawaayo mu mikono gy'abalabe baabwe ne mu gy'abo abanoonya obulamu bwabwe, ne mu gy'eggye ly'e Babiloni abaakabavaako kati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndiwaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda n’abakungu be bonna eri abalabe baabwe ababanoonya okubatta, n’eri eggye lya kabaka w’e Babulooni, eribadde lizzeeyo emabega.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abakungu be, ndibawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe, ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe, ne mu mukono gw'eggye lya kabaka w'e Babbulooni ababavuddeko abambuse.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ndiwaayo Kabaka Zeddeekiya owa Buyudaaya n'abakungu be, mu mikono gy'abo abaagala okubatta. Ndibawaayo eri eggye ly'Abakaludaaya, erirekedde awo okubalumba mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abakungu be ndibawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe, ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe, ne mu mukono gw'eggye lya kabaka w’e Babulooni ababavuddeko abambuse.