Jeremiah 34:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kuwa ekiragiro, Omukama y'agamba, mbakomyewo mu kibuga kino. Bajja kukirwanyisa, bakiwambe, bakyokye omuliro. Ebibuga bya Yuda ŋŋenda kubifuula matongo nga tewakyali abisulamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ŋŋenda kuwa ekiragiro, bw’ayogera Mukama, era ndibakomyawo mu kibuga kino. Balikirwanyisa bakitwale, bakyokye. Era ndizikiriza ebibuga bya Yuda waleme kubaawo abibeeramu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ndiragira, bw'ayogera Mukama, ne mbakomyawo ku kibuga kino; era balirwana nakyo ne bakimenya ne bakyokya omuliro, era ndifuula ebibuga bya Yuda amatongo nga temuli abibeeramu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndiragira, ne bakomawo okulumba ekibuga kino, era balikirwanyisa, ne bakiwamba, era ne bakyokya omuliro. Era ebibuga bya Buyudaaya ndibifuula matongo, ne wataba abibeeramu. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndiragira, bw'ayogera Mukama, ne mbakomyawo ku kibuga kino; era balirwana nakyo ne bakimenya ne bakyokya omuliro: era ndifuula ebibuga bya Yuda amatongo nga temuli abibeeramu.