Jeremiah 34:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Togenda kumusumattuka mu ngalo ze, olikwatibwa n'oweebwayo mu mikono gye. Kabaka w'e Babiloni olimulabira ddala n'amaaso go n'ayogera naawe maaso ku maaso. Ojja kugenda e Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tolisumattuka mukono gwe era oliwambibwa otwalibwe gy’ali. Oliraba kabaka w’e Babulooni n’amaaso go, olyogera naye nga mutunuuliraganye, era olitwalibwa e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
so naawe toliwona mu mukono gwe, oliwambibwa n'oweebwayo mu mukono gwe; era oliraba kabaka w'e Babbulooni maaso ku maaso, era alyogera naye akamwa ku kamwa, era oligenda e Babbulooni.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naawe toliwona. Olikwatibwa n'oweebwayo mu mikono gye. Olimulaba maaso na maaso, era olyogera naye yennyini, era oligenda e Babilooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so naawe toliwona mu mukono gwe, naye tolirema kuwambibwa n'oweebwayo mu mukono gwe; n'amaaso go galiraba amaaso ga kabaka w'e Babulooni, era alyogera naawe akamwa n'akamwa, era oligenda e Babulooni.