Jeremiah 34:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka, ggwe Zedekiya kabaka wa Yuda, wulira ekigambo ky'Omukama: Omukama kino ky'akugamba: togenda kuttibwa kitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Wabula wulira ekisuubizo kya Mukama, ggwe Zeddekiya kabaka wa Yuda. Bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikukwatako nti, Tolifa kitala;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye wulira ekigambo kya Mukama, ayi Zeddekiya kabaka wa Yuda; bw'ati bw'ayogera Mukama, ebikukwatako nti, ‘gwe tolifa na kitala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Zeddeekiya, wulira bye ŋŋamba ebifa ku ggwe. Tolittirwa mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye wulira ekigambo kya Mukama, ai Zeddekiya kabaka wa Yuda; bw'ati bw'ayogera Mukama ku ggwe nti Tolifa na kitala;