Jeremiah 34:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ogenda kufa mu ddembe. Ng'abantu bwe baakumira bajjajjaabo ekkoomi, abo bakabaka ab'edda abaakukulembera, bwe balirikukumira, ne bakukungubagira nga bagamba nti: “Kitalo, mukama waffe!” Nze kennyini nze njogedde, Omukama y'agamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
olifa mu mirembe. Ng’abantu bwe bakuma ebyoto mu nnyimbe za bakitaawo, bakabaka abasooka, bwe batyo bwe balikuwa ekitiibwa nga bakujjukira nga bakukungubagira nga bagamba nti, “Woowe mukama waffe!” Nze kennyini mpa ekisuubizo kino, bw’ayogera Mukama.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye olifa mu mirembe. Era ng'abantu bwe baayotereza obubaane bajjajjaabo bassekabaka ab'edda abaakusooka, bwe batyo naawe bwe balikwotereza obubaane; era balikukungubagira nga boogera nti, Woowe, Mukama waffe!’ Kubanga njogedde ekigambo ekyo, bw'ayogera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olifa mirembe. Era ng'abantu bwe baayotereza obubaane nga baziika bajjajjaabo, bassekabaka, naawe bwe balikwotereza obubaane. Balikukungubagira nga bagamba nti: ‘Kabaka waffe afudde!’ Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
olifa mirembe; era ng'okwokya bwe kwabanga okwa bajjajjaabo bassekabaka ab'edda abaakusooka, bwe batyo bwe balikukolera okwokya; era balikukungubagira nga boogera nti Woowe, Mukama waffe! kubanga njogedde ekigambo ekyo, bw'ayogera Mukama.