Jeremiah 34:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo nno eggye lya kabaka w'e Babiloni lyali lirwanyisa Yeruzaalemu n'ebibuga bya Yuda ebyali bikyanywedde, bye bi-Lakisi ne Azeka, anti bino bye byali ebibuga bya Yuda okuli ebigo ebyali bikyasigaddewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga amaggye ga kabaka w’e Babulooni bwe galwanyisa Yerusaalemi n’ebibuga ebirala ebya Yuda, Lakisi ne Azeka, ebyali bikyanywereddewo. Bino bye bibuga byokka ebyaliko eminaala egyali gisigadde mu Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eggye lya kabaka w'e Babbulooni bwe lyali nga lirwana ne Yerusaalemi n'ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bisigaddewo, Lakisi ne Azeka; kubanga ebyo byokka bye bibuga bya Yuda ebyali bisigaddewo ebiriko enkomera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ng'eggye lya kabaka wa Babilooni lirumbye ekibuga ekyo, era nga lirumbye ne Lakisi ne Azeka, ebibuga byokka ebya Buyudaaya ebyali bikyanywezeddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eggye lya kabaka w’e Babulooni bwe lyali nga lirwana ne Yerusaalemi n'ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bisigaddewo, Lakisi ne Azeka; kubanga ebyo byokka bye byasigalawo ku bibuga bya Yuda nga biriko enkomera.