Jeremiah 34:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigambo ky'Omukama kyajja eri Yeremiya nga kabaka Zedekiya amaze okukkaanya n'abantu bonna ab'omu Yeruzaalemu okulangirira okuteebwa mu buddu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kye kigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama nga kabaka Zeddekiya amaze okukola endagaano n’abantu bonna mu Yerusaalemi okulangirira nti abaddu baweereddwa eddembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, oluvannyuma lwa kabaka Zeddekiya okukola endagaano n'abantu bonna abaali mu Yerusaalemi, okubalangirirako eddembe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Zeddeekiya yali akkaanyizza n'abantu bonna ab'omu Yerusaalemu okuta abaddu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya bwe yali ng'amaze okulagaana endagaano n'abantu bonna abaali mu Yerusaalemi, okubalangira eddembe;