Jeremiah 34:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli omu yali wa kuta omuddu we Omwebureeyi oba omuzaana we Omwebureeyi, nga tewakyali n'omu kukozesa Muyudaaya munne ng'omuddu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muntu yenna yali ateekwa okuta omuddu we Omwebbulaniya, abasajja n’abakazi; nga tewali n’omu alina kukuumira Muyudaaya munne mu busibe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
buli muntu ate abaddu be Abaebbulaniya, oba basajja oba bakazi, waleme okubeerawo afuula Omuyudaaya muganda we omuddu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu yali wa kuta abaddu be n'abazaana be Abeebureeyi, waleme kubaawo afuga Mwebureeyi munne buddu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
buli muntu ate omuddu we na buli muntu ate omuzaana we, oba nga Omwebbulaniya, musajja oba mukazi, okuba ow'eddembe; waleme okubaawo abafuula abaddu, Omuyudaaya muganda we: