Jeremiah 35:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigambo kyajja eri Yeremiya okuva ew'Omukama, mu mirembe gya Yoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, nga kigamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya mu bufuzi bwa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, mutabani wa Yosiya nga kigamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigambo ekyajja eri Yeremiya nga kiva eri Mukama mu mirembe gya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga kyogera nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoyakiimu mutabani wa Yosiya bwe yali nga ye kabaka wa Buyudaaya, Mukama n'aŋŋamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama mu mirembe gya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga kyogera nti