Jeremiah 35:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni bwe yalumba ensi eno, ffe kwe kugamba nti: ‘Mugire tugende e Yeruzaalemu, tusobola okuwona eggye ly'Abakaludeya n'ery'Abaaramu,’ bwe tutyo ne tusigala mu Yeruzaalemu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni bwe yazinda ensi eno ne tugamba nti, ‘Tugende e Yerusaalemi tuwone eggye ery’Abakaludaaya n’ery’Abasuuli,’ kyetuvudde tubeera mu Yerusaalemi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye olwatuuka Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni bwe yatabaala ensi, ne twogera nti, ‘Mujje tugende e Yerusaalemi olw'okutya eggye ery'Abakaludaaya n'eggye ery'Abasuuli;’ kyetuva tubeera e Yerusaalemi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni bwe yalumba ensi eno, ne tusalawo okujja e Yerusaalemu olw'okutya eggye ly'Abakaludaaya, n'eggye ly'Abasiriya, kyetuva tubeera mu Yerusaalemu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye olwatuuka Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni bwe yatabaala ensi, ne twogera nti Mujje tugende e Yerusaalemi olw'okutya eggye ery'Abakaludaaya n'olw'okutya eggye ery'Abasuuli; kyetuva tubeera e Yerusaalemi.