Jeremiah 35:13 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: Genda ogambe abantu ba Yuda n'abasula mu Yeruzaalemu nti: ‘Temuliyiga ne mukwata ebigambo byange?’ Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Genda ogambe abantu ba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi nti, ‘Temuyinza kubaako kye muyiga, ne mugondera ebigambo byange?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Genda obagambe abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi nti, Temukkirize kuyigirizibwa n'okuwuliriza ebigambo byange? Bw'ayogera Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Genda obagambe abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi nti Temukkirize kuyigirizibwa okuwuliriza ebigambo byange? bw'ayogera Mukama.