Jeremiah 35:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Ekiragiro kya Yonadabu mutabani wa Rekabu, bwe yagaana abaana be okunywa omwenge kyakuumibwa. N'okutuusa ku lunaku lwa leero tebanywa mwenge olw'okugondera ekiragiro kya jjajjaabwe. Sso nze njogedde nammwe buli olukedde, naye temumpuliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yonadabu mutabani wa Lekabu yalagira batabani be obutanywa nvinnyo n’ekiragiro kino kyakumibwa. Okutuusa ne leero tebanywa nvinnyo, kubanga baagondera etteeka lya jjajjaabwe. Naye njogedde nammwe emirundi mingi, naye temuŋŋondedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiragiro kya Yonadaabu mutabani wa Lekabu kye yalagira batabani be, obutanywanga ku mwenge, kyagonderwa, so tebanywako na guno gujwa, kubanga bagondera ekiragiro kya jjajjaabwe, naye nze n'ayogera nammwe, obutayosa; so temumpulirizanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazzukulu ba Yonadaabu mutabani wa Rehabu baawulira kye yalagira, obutanywanga mwenge gwa mizabbibu, era n'okutuusa kaakati tebagunywerako ddala n'akatono. Naye Nze njogedde nammwe awatali kwosa, naye mmwe temumpuliriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebigambo bya Yonadaabu mutabani wa Lekabu bye yalagira batabani be, obutanywanga ku mwenge, byatuukirizibwa, so tebanywako na guno gujwa, kubanga bagondera ekiragiro kya jjajjaabwe: naye nze nayogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera; so temumpulirizanga.