Jeremiah 35:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabatumira buli olukedde abaweereza bange abalanzi, ne babagambanga nti: “Buli omu aleke ekkubo lye ebbi, mutereeze ebikolwa byammwe; temugoberera balubaale na kubaweereza. Olwo mulisobola okusigala mu nsi gye nabawa, mmwe ne bajjajjammwe.” Naye temwampuliriza, temwanfaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emirundi mingi, natuma abaddu bange bonna bannabbi gye muli. Babagamba nti, “Buli omu ku mmwe ateekwa okuva mu makubo ge amabi akyuse ebikolwa bye, muleme kugoberera bakatonda balala okubaweereza, mulyoke mubeere mu nsi gye nabawa ne bajjajjammwe.” Naye temwanfaako wadde okumpuliriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mbatumidde abaddu bange bonna bannabbi, nga mbatuma obutayosa, nga njogera nti, Mudde nno buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi, mulongoose ebikolwa byammwe, so temugobereranga bakatonda abalala okubaweerezanga, kale mulituula mu nsi gye nnawa mmwe ne bajjajjammwe; naye temwatega kutu kwammwe oba okumpuliriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Siyosanga kubatumira baweereza bange abalanzi, ne babagamba nti buli omu mu mmwe alekeyo empisa ze embi, era akole ebituufu. Temuugobererenga era temuuweerezenga balubaale, mulyoke mubeerenga mu nsi gye nabawa mmwe, ne bajjajjammwe. Naye temumpulirizanga era temussangayo mwoyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okutuma mbatumidde abaddu bange bonna bannabbi, nga ngolokoka mu makya ne mbatuma, nga njogera nti Mudde nno buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi, mulongoose ebikolwa byammwe, so temugobereranga bakatonda abalala okubaweerezanga, kale mulituula mu nsi gye nnawa mmwe ne bajjajjammwe; naye temuteganga kutu kwammwe so temumpulirizanga.