Jeremiah 35:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Yonadabu mutabani wa Rekabu bakuumye ekiragiro kya jjajjaabwe kye yabawa, naye abantu bano tebampulidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’enda ya Yonadabu mutabani wa Lekabu baakuuma ekiragiro jjajjaabwe kye yabalagira, naye abantu bano tebaŋŋondedde.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale batabani ba Yonadaabu mutabani wa Lekabu batuukirizza ekiragiro kya jjajjaabwe kye yabalagira, naye abantu bano tebaŋŋondedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazzukulu ba Yonadaabu mutabani wa Rehabu batuukirizza ekiragiro jjajjaabwe kye yabalagira, naye abantu bange tebafuddeeyo ku kye mbalagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga batabani ba Yonadaabu mutabani wa Lekabu batuukirizza ekiragiro kya jjajjaabwe kye yabalagira, naye abantu bano tebampulirizza;