Jeremiah 35:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo, Omukama Katonda w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: ŋŋenda kusombera ku Yuda ne ku bantu bonna ab'omu Yeruzaalemu buli kabi ke nabawerera, kubanga nabagambanga naye nga tebampulira; nabayita, tebannyanukula.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ŋŋenda kuleeta ku Yuda ne ku buli muntu yenna atuula mu Yerusaalemi buli kibonoobono kye naboogerako. Nayogera nabo, naye tebampuliriza; nabayita, naye tebanziramu.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti, Laba, ndireeta ku Yuda ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi obubi bwonna bwe nnaakaboogerako; kubanga n'ayogera nabo, naye ne batawulira; era mbayise, naye ne batayitaba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano Nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, ndituusa ku mmwe abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu akabi konna ke nagamba okubatuusaako, kubanga nayogera nammwe, ne mutawuliriza, era nabayita, ne mutayitaba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndireeta ku Yuda ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi obubi bwonna bwe nnaakaboogerako: kubanga nayogera nabo, naye ne batawulira; era mbayise, naye ne batayitaba.