Jeremiah 35:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yeremiya n'agamba ab'ennyumba y'Abarekabu nti: “Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Kubanga mwawulira ekiragiro kya jjajjammwe Yonadabu, ne mukwata byonna bye yayogera, ne mutuukiriza byonna bye yakuutira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeremiya n’agamba ennyumba y’Abalekabu nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Mugondedde ekiragiro kya jjajjaammwe Yonadabu ne mukwata byonna bye yabalagira ne mutuukiriza byonna bye yabagamba.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeremiya n'agamba ekika eky'Abalekabu nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Kubanga mugondedde ekiragiro kya Yonadaabu jjajjammwe ne mukwata byonna bye yabakuutira ne mukola nga byonna bwe byali bye yabalagira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ŋŋamba Abarehabu nti: “Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agambye nti: ‘Nga bwe mugondedde ekiragiro kya Yonadaabu jjajjammwe, ne mukwata byonna bye yabakuutira, era ne mutuukiriza byonna nga bwe yabalagira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeremiya n'agamba ekika eky'Abalekabu nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Kubanga mugondedde ekiragiro kya Yonadaabu jjajjajjammwe ne mukwata byonna bye yakuutira ne mukola nga byonna bwe byali bye yabalagira;