Jeremiah 35:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kale n'Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: Yonadabu mutabani wa Rekabu tagenda kubulwa musajja ennaku zonna alimuweereza.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Yonadabu mutabani wa Lekabu talirema kuba na mwana we alimpeereza.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Yonadaabu mutabani wa Lekabu taabulwenga musajja wa kuyimirira mu maaso gange ennaku zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, nsuubiza nti Yonadaabu mutabani wa Rehabu, bulijjo anaabanga ne muzzukulu we ow'obulenzi okumpeerezanga ennaku zonna.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Yonadaabu mutabani wa Lekabu taabulwenga musajja wa kuyimirira mu maaso gange ennaku zonna.