Jeremiah 35:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne nzirira Yaazaniya mutabani wa Yeremiya mutabani wa Kabazziniya, wamu ne baganda be n'abaana be bonna, be b'ennyumba yonna ey'Abarekabu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ntwala Yaazaniya mutabani wa Yeremiya, mutabani wa Kabazziniya ne baganda be ne batabani be bonna, ekika kyonna eky’Abalekabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ne ntwala Yazaniya mutabani wa Yeremiya, Yeremiya mutabani wa Kabazziniya ne baganda be ne batabani be bonna n'ekika kyonna eky'Abalekabu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ne ntwala Abarehabu bonna: Yaazaniya, mutabani wa Yeremiya, omwana wa Habaziniya, ne baganda be, ne batabani be bonna,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ne ntwala Yaazaniya mutabani wa Yeremiya mutabani wa Kabazziniya ne baganda be ne batabani be bonna n'ekika kyonna eky'Abalekabu;