Jeremiah 35:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne mbayingiza mu nnyumba y'Omukama, mu kisenge kya batabani ba Kanani mutabani wa Yigudaliya, omuntu wa Katonda. Kyali kiriraanye ekisenge ky'abakungu, ekyali waggulu w'ekyo ekya Maaseeya, mutabani wa Sallumu, omukuumi w'oku mulyango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mbayingiza mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya batabani ba Kanani mutabani wa Igudaliya omusajja wa Katonda. Kyali kiriraanye ekisenge kya bakungu, ekyali waggulu w’ekisenge kya Maaseya mutabani wa Sallumu omukuumi w’oluggi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne mbayingiza mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya batabani ba Kanani, Kanani mutabani wa Igudaliya omusajja wa Katonda, ekyali kiriraanye ekisenge eky'abakungu, ekyali waggulu w'ekisenge kya Maaseya mutabani wa Sallumu omuggazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne mbayingiza mu Ssinzizo, mu kisenge ky'abayigirizwa b'omulanzi Anani, mutabani wa Yigudaliya. Ekisenge kino kyali waggulu w'ekisenge kya Maaseya, mutabani wa Sallumu omuggazi, era okumpi n'ekisenge ky'abakungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne mbayingiza mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya batabani ba Kanani mutabani wa Igudaliya omusajja wa Katonda, ekyaliraana ekisenge eky'abakungu, ekyali waggulu w'ekisenge kya Maaseya mutabani wa Sallumu omuggazi: