Jeremiah 35:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne ndeeta ebibya ebijjudde evviini n'ebikopo, ne mbissa mu maaso g'ab'ennyumba y'Abarekabu, ne mbagamba nti: “Munywe omwenge.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nteeka ebibya ebijjudde envinnyo n’ebikopo ebimu mu maaso g’abasajja ab’ennyumba y’Abalekabu ne mbagamba nti, “Munywe ku nvinnyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne nteeka ebita ebijjudde omwenge n'ebikompe mu maaso g'abaana b'ekika eky'Abalekabu, ne mbagamba nti, “Munywe omwenge.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne nteeka amacupa g'omwenge gw'emizabbibu n'ebikopo mu maaso g'Abarehabu, ne mbagamba nti: “Munywe omwenge gwe mizabbibu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne nteeka ebita ebijjudde omwenge n'ebikompe mu maaso g'abaana b'ekika eky'Abalekabu, ne mbagamba nti Munywe omwenge.