Jeremiah 35:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne baddamu nti: “Tetujja kunywa mwenge: kubanga jjajjaffe Yonadabu mutabani wa Rekabu yatukomereza nti: ‘Temunywanga omwenge emirembe gyonna, mmwe newandibadde batabani bammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne baddamu nti, “Tetujja kunywa nvinnyo kubanga jjajjaffe Yonadabu mutabani wa Lekabu yatulagira nti, ‘Tewabanga n’omu ku mmwe wadde abaana bammwe anywanga envinnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bo ne boogera nti, “Tetuunywe ku mwenge, kubanga Yonadaabu mutabani wa Lekabu jjajjaffe yatulagira ng'ayogera nti, ‘Temunywanga ku mwenge, mmwe, newakubadde batabani bammwe, emirembe gyonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bo ne baddamu nti: “Tetujja kunywa mwenge gwa mizabbibu, kubanga jjajjaffe Yonadaabu, mutabani wa Rehabu, yatugamba ffe, n'ezzadde lyaffe, obutanywanga mwenge gwa mizabbibu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bo ne boogera nti Tetuunywe ku mwenge: kubanga Yonadaabu mutabani wa Lekabu jjajjaffe yatulagira ng'ayogera nti Temunywanga ku mwenge, mmwe newakubadde batabani bammwe, emirembe gyonna: