Jeremiah 35:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era temuzimbanga amayumba, yadde okusiga oba okusimba emizabbibu; temubeeranga nabyo; naye munaasulanga mu weema obulamu bwammwe bwonna. Olwo muliwangaala ebbanga ggwanvu mu nsi mwe mubungeetera.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era temuzimbanga ennyumba, wadde okusiganga ensigo wadde okusimba emizabbibu; temubanga na bintu bino byonna, naye mubeeranga mu weema zokka. Olwo munaawangaliranga mu nsi gye munaaberangamu.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
so temuzimbanga nnyumba, temusiganga nsigo, temusimbanga lusuku lwa mizabbibu, era temubanga nazo, naye munaamalanga ennaku zammwe zonna mu weema; mulyoke muwangaale ennaku nnyingi mu nsi gye mutuulamu.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era yatugamba obutazimbanga mayumba, n'obutalimanga n'obutasimbanga nnimiro za mizabbibu, wadde okuzigula. Yatulagira kubeeranga mu weema bulijjo, tulyoke tusigalenga mu nsi gye tubeeramu, nga tuli ng'abayise.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so temuzimbanga nnyumba so temusiganga nsigo, so temusimbanga lusuku lwa mizabbibu so temubanga nazo: naye munaamalanga ennaku zammwe zonna mu weema; muwangaale ennaku nnyingi mu nsi gye mutuulamu.