Jeremiah 35:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twagondera bulungi buli ekiri mu kiragiro kya jjajjaffe Yonadabu mutabani wa Rekabu, ffe, bakazi baffe, batabani baffe ne bawala baffe tetunywera ddala ku mwenge n'akamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Twagondera ekiragiro kya jjajjaffe Yonadabu mutabani wa Lekabu kye yatulagira. Ffe wadde bakazi baffe wadde batabani baffe wadde bawala baffe tetunywangako ku nvinnyo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era twagondera eddoboozi lya Yonadaabu mutabani wa Lekabu jjajjaffe mu byonna bye yatukuutira, obutanywanga ku mwenge ennaku zaffe zonna, ffe ne bakazi baffe ne batabani baffe ne bawala baffe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era twawulira ebyo byonna Yonadaabu bye yatukuutira. Tetunywera ddala ku mwenge, ffe ne bakazi baffe, ne batabani baffe, ne bawala baffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era twagondera eddoboozi lya Yonadaabu mutabani wa Lekabu jjajjaffe mu byonna bye yatukuutira, obutanywanga ku mwenge ennaku zaffe zonna, ffe ne bakazi baffe ne batabani baffe ne bawala baffe;