Jeremiah 36:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogwokuna ogwa Yoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekigambo kyajja eri Yeremiya nga kiva ew'Omukama nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nga kigamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu mwaka ogwokuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ekigambo kino ne kijja eri Yeremiya nga kiva eri Mukama nga kyogera nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogwokuna nga Yehoyakiimu mutabani wa Yosiya ye kabaka wa Buyudaaya, Mukama n'aŋŋamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ekigambo kino ne kijjira Yeremiya ekyava eri Mukama nga kyogera nti