Jeremiah 36:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baruku n'asoma mu kitabo ebigambo bya Yeremiya ku Kiggwa ky'Omukama, abantu bonna nga bawulira, ng'asinziira mu kisenge kya Gemariya mutabani wa Safani omuwandiisi, mu luggya olw'engulu ku muzigo gw'Omulyango Omuggya ogw'Ekiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ng’abantu bonna bawulira, Baluki n’asoma ebigambo bya Yeremiya okuva mu muzingo, mu nnyumba ya Mukama ng’ali mu kisenge kya Gemaliya mutabani wa Safani omuwandiisi, ekyali mu luggya olw’ekyengulu, mu mulyango omuggya ogw’ennyumba ya Mukama ng’abantu bonna bawulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Baluki n'asoma mu kitabo ebigambo byonna Yeremiya bye yali amubuulidde; mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya Gemaliya mutabani wa Safani omuwandiisi, ekyali waggulu w'oluggya olw'engulu, okumpi n'o mulyango omuggya ogw'ennyumba ya Mukama mu matu g'abantu bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Baruku n'asoma mu muzingo gw'ekitabo, ebigambo byonna bye namugamba. Yabisomera mu Ssinzizo, ng'ali mu kisenge kya Gemariya, mutabani wa Safani era omuwandiisi, ekyali waggulu w'oluggya, okumpi n'Omulyango Omuggya ogw'Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Baluki n'asoma mu kitabo ebigambo bya Yeremiya mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya Gemaliya mutabani wa Safani omuwandiisi, mu luggya olw'engulu awayingirirwa mu mulyango omuggya ogw'ennyumba ya Mukama, mu matu g'abantu bonna.