Jeremiah 36:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'aserengeta mu lubiri lwa kabaka n'agenda mu kisenge ky'omuwandiisi. Abakungu bonna baali batudde omwo: Elisama omuwandiisi, Delaaya mutabani wa Semaaya, Elunatani mutabani wa Akubori, Gemariya mutabani wa Safani, Zedekiya mutabani wa Ananiya n'abakungu abalala bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’agenda eri ennyumba y’omuwandiisi mu lubiri lwa kabaka, abakungu bonna gye baali batudde: Erisaama omuwandiisi, ne Deraya mutabani wa Semaaya, ne Erunasani mutabani wa Akubooli, ne Gemaliya mutabani wa Safani, ne Zeddekiya mutabani wa Kananiya, n’abakungu bonna abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'aserengeta mu nnyumba ya kabaka mu kisenge eky'omuwandiisi, kale, laba, abakungu bonna nga batudde omwo, Erisaama omuwandiisi ne Deraya mutabani wa Semaaya ne Erunasani mutabani wa Akubooli ne Gemaliya mutabani wa Safani ne Zeddekiya mutabani wa Kananiya n'abakungu bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aserengeta mu lubiri, n'atuuka mu kisenge ky'omuwandiisi, abakungu bonna mwe baali batudde. Elisaama omuwandiisi, ne Delaaya mutabani wa Semaaya, ne Elunatani mutabani wa Akuboori, ne Gamariya mutabani wa Safani, ne Zeddeekiya mutabani wa Ananiya, n'abakungu abalala bonna, baaliyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'aserengeta mu nnyumba ya kabaka mu kisenge eky'omuwandiisi: kale, laba, abakungu bonna nga batudde omwo, Erisaama omuwandiisi ne Deraya mutabani wa Semaaya ne Erunasani mutabani wa Akubooli ne Gemaliya mutabani wa Safani ne Zeddekiya mutabani wa Kananiya n'abakungu bonna.